Tubalisaayo mu weekend
Tubalisaayo mu weekend era tubakubiriza okwongera ku migabo gyammwe wamu nokutereka anti ekiseera ky’ennaku enkulu mukiraba kituuse era nammwe banna byanfuna eno yesaawa entuufu okwongera ku Capital wammwe n’ebyettunzi mu business zammwe gyangu ofuneyo looni mubwangu oyoole ensimbi. KOLA , FISSA, TEREKA , SIGA ENSIMBI.
Oweekitibwa Al Hajji Twaha Kigongo
Akola nga Ssenkulu wa Essuubiryo Zambogo Sacco
Akola nga Ssenkulu wa Essuubiryo Zambogo Sacco yabadde omugenyi owenjawulo mu Mwoleso Ggaggadde wali mu Lubiri e Mengo, alambuziddwa amakampuni nabantu Sekinoomu abazze okwolesa business zaabwe. Akunze abantu ba Kabaka okukola ennyo okufissa okutereka ate nokusiga ensimbi bekulakulanye olwo Buganda lweggya okutuuka Ku ntikko.
Twatambudde ne Katikkiro
Twatambudde ne Katikkiro wamu nab’ebitiibwa abenjawulo okulambula banna Nkobazambogo abali mu bugwa njuba. Yonna jetuyise bakubiriziddwa okwettanira obweggassi nga Ssaabasajja Kabaka bwatukubiriza bulijjo, ate era bakubiriziddwa Okukola ennyo, Okufissa, Okutereka, wamu n’Okusiga ensimbi beekulaakulanye.