Twatambudde ne Katikkiro
Twatambudde ne Katikkiro wamu nab’ebitiibwa abenjawulo okulambula banna Nkobazambogo abali mu bugwa njuba. Yonna jetuyise bakubiriziddwa okwettanira obweggassi nga Ssaabasajja Kabaka bwatukubiriza bulijjo, ate era bakubiriziddwa Okukola ennyo, Okufissa, Okutereka, wamu n’Okusiga ensimbi beekulaakulanye.